Poliisi ngeyambibwako kkamera enkettabikolwa ekutte Ddereeva w’emotoka agafemulago eyatomedde omuntu ku nkulungo ya Mukwano nadduka.

Uganda Police Force evuddeyo netegeeza; “Poliisi ngeyambibwako kkamera enkettabikolwa ekutte Ddereeva w’emotoka agafemulago eyatomedde omuntu ku nkulungo ya Mukwano nadduka.
Poliisi mu Kampala ekutte Mayanja Muhammed nga ono ddereeva wa motoka agafemulago ey’eddwaliro lya Kibuli Muslim Hospital nga kigambibwa nti yatomedde Buronde Agnes 48, nga mutuuze we Wabigalo namukasuka mu mwala gwa kazambi ku ssaawa ssatu ezookumakya nadduka.
Kigambibwa nti aba Booda booda n’abantu bamugobye bweyabadde agezaako okudduka bwatyo nayimirira namuteekamu nebamutwala mu Ddwaliro lya Kibuli Muslim Hospital ngeno embeera ye gyeyatambukidde nebamuddusa mu Ddwaliro e Mulago mu waadi ya Causality, wabula babadde bakamutuusa e Mulago nebabategeeza nti afudde.
Kigambibwa nti Ddereeva wa Ambulance yakubidde aba Famire ya Agnes nabategeeza nti omuntu waabwe yabadde atomeddwa emotoka etategeerekese. Kino kyaleetedde aboluganda okusaba Abasirikale b’ebidduka okubayamba okunoonyereza ani yatomedde omuntu waabwe.
Mukunoonyereza ku Kkamera Poliisi yasobodde okuzuula emotoka eyatomedde Agnes nnamba UBA 784U nga bakozesa Automatic Number-Plate Recognition (ANPR) ku kkamera ezisangibwa ku luguudo lwa Yusuf Lule era bwebagigoberedde nebagiraba ngeyingira ku Ddwaliro e Mulago Casuality Ward.
Oluvannyuma Poliisi yanoonyezza Ddereeva wa Ambulance nemukwata nga kati akuumirwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala nemotoka nayo yasikiddwa.”
Leave a Reply