Omulamuzi wa Kkooti etuula e Wakiso avuddeyo nayisa ekiragiro ekikwata eyavugaanyako ku kifo ky’Omubaka wa Busiro South Owor Paul lwakulemererwa kusasula obukadde 13. Ekiragiro ekikwata Owor kyayisiddwa Omulamuzi John Kaggwa ngagamba nti ono alina okukwatibwa Uganda Police Force mu bunnambiro atwalibwa mu Kkomera lya Gavumenti lyonna kuba yannyomoola era nalemererwa okulaga ensonga eremesa okumutwala mu kkomera.
Omulamuzi agamba nti ono bwakwatibwa atwalibwe mu kkomera lya Gavumenti akulunguleyo emyezi egitasukka 6 oba okutuusa nga ekiragiro kino kituukiriziddwa. Ekiragiro kyadiridde Omubaka wa Busiro South Charles Matovu ngayita mu Bannamateeka be abakulembeddwamu okuwangula okuwakanya okwali kuteereddwayo Owor ngawakanya obuwanguzi bwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Matovu eyafuna obululu 35,391, Owor 16,418 omwali ne Peter Ssematimba owa National Resistance Movement – NRM n’abalala.
Owor yasaba omulamuzi wa Kkooti ye Wakiso awalirize Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda okuddamu okubala obululu wabula okusaba kwe nekugobebwa Kkooti era nemulagira asasule ensimbi ezaali zikozeseddwa mu musango.
Okusaba kwe bwekwagobebwa Matovu yassaayo okusaba kwe ngayagala Owor amuliyirire obukadde 29 obwateekebwako omusolo olwo nalagirwa asasule obukadde 13,120,000.
Owor ayitiddwa mu Kkooti enfunda bbiri nga talabikako okunnyonyola lwaki tasasula nsimbi zino wadde ne Bannamateeka be okwanukula.