Omwogezi wa ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka Faridah Nampiima avuddeyo nafulumya olukalala lw’ennamba z’emotoka ezakwatibwa kkamera enkettabikolwa ngazimenya amateeka gokunguudo mu bitundu byeggwanga eby’enjawulo era nga zikubiddwa ebipapula ebyengasi. Nampiima asabye bannanyini motoka zino okugenda ku Poliisi ebalinaanye okufuna ebipapula bino kwebalina okusasulira engasi mu bwangu.
Nampiima ayongeddeko nti bakugenda mu maaso n’okukozesa kkamera zino okubonereza abo abatagoberera mateeka gakunguudo.