Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte abantu abasoba mu 50 mu bikwekweto ebyakoleddwa ku Eid nga bano babadde banyakula amasimu ku mizigiti egyenjawulo okuli; Old Kampala, Wandegeya ne Katwe.