Uganda Police Force yeridde empanga mu Ggwanga mukulinyirira eddembe ly’obuntu, neddirirwa eggye lya UPDF wamu n’ebitongole byebyokwerinda ebirala. Bino bifulumidde mu alipoota ya Press Freedom Index eyafulumiziddwa ekitongole kya Human Rights Network for Journalists. Okusinziira ku alipoota eno kyeyoleka nga emisango 131 egyokutulugunya Bannabawulire bwegyawawabirwa mu mwaka gwa 2021. Wabula gino gyakendeerako bwogigeraageranya ne gya 2020 egyali 174.