Poliisi ekubye omukka ogubalagala okugumbulula baddereeva ba takisi ezitikkira ku luguudo lwa Ben Kiwanuka okuva ku ssundiro ly’amafuta erya Shell okutuuka ku Shoprite ababadde bagezaako okulemesa aba KCCA okubagoba.
Bino byabaddewo ku Mmande abaserikale ba KCCA nga bawerekerwako poliisi ekkakkanya obujagalalo bwe baagenze ku Shoprite okugoba takisi ezittikira mu kifo kino mu kaweefube w’okutereeza enkola y’emirimu mu kibuga wabula baddereeva ne bava mu mbeera ne bagezaako okubalwanyisa. Bwe baatuuse ku Shoprite aba takisi beekunganyizza ne batandika okulwanagana nabo saako okukasuka amayinja olwo poliisi n’ebakyukira n’ebakuba omukka ogubalagala ne babuna emiwabo.
Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’atonnya musaayi.
Baddereeva ba takisi bazzeemu okwekungaanya baddemu balumbe aba KCCA wabula bataano ne bakwatibwa poliisi n’ebalinnyisa ku kabangali ne babatwala ku City Hall ne takisi ezimu nzo ne zitwalibwa.
Amyuka ssentebe w’ekibiina kya KOTSA, Rashid Ssekindi yagambye nti ekikwekweto ekyakoleddwa KCCA tekyabaddemu makulu kuba baalonzeemu ekitundu kimu okugobamu takisi ne baleka ebitundu ebirala nga kiraga nti ezikolera ku Shoprite waliwo eyabawendudde okuzigoba.
“Twebuuza lwaki KCCA yayise ku nguudo endala zonna okuli takisi ezitikkira ku mabbali g’enguudo n’ejja wansi ku Shoprite awatali buzibu bwonna kiraga nti waliwo kyekubiira mu ngeri KCCA gy’ekolamu emirimu,” Ssekindi bwe yagambye.
Yagambye nti KCCA singa yabadde eyagala okukola ekikwekweto kino yandibadde esooka n’etuukirira abakulembeze mu mulimu gwa takisi ne boogera ku ngeri y’okutereezaamu.