Prof. Kanyeihamba tanawambibwa mukuumi we – Poliisi

Poliisi evuddeyo nesambajja engambo ezibadde zitambuzibwa nti omusirikale wa Poliisi akuuma eyaliko Omulamuzi Kanyehamba, nti kwabadde kusika muguwa wakati weyaliko omulamuzi Prof. George Kanyehamba wamu n’omukuumi we e Buziga. Omusirikale wa Poliisi akuuma amaka ga Prof. Kanyehamba yamusabye okugenda okuziika Kitaawe wabula omulamuzi namulagira okumuwa emmundu gyakozesa okumukuuma, omusirikale kyeyagaanye.

Okusinziira ku mateeka agaweebwa abasirikale, omusirikale wa Poliisi takirizibwa kulekera mmundu muntu atalina kubeera nayo mu mateeka.

 

Bwatyo omulamuzi yalagidde abakozi bawaka okuggalawo ggeeti okulemesa omukuumi okufuluma. Yakubidde bakama be essimu abatuuse mu bwangu nabamawa emmundu era nebateekawo omusirikale omulala. Engambo ezibadde zitambuzibwa nti omusirikale wa Poliisi yawambye omulamuzi Kanyehamba sibituufu.

Leave a Reply