Ababaka mu Palamenti baagala Pulezidenti Museveni mu bwangu ddala obw’ekitalo alonderewo ba memba b’akakiiko k’ebyokulonda abapya oluvannyuma lw’ekisanja ky’akakiiko akabadde kakulemberwa Eng. Dr. Badru Kiggundu okuggwako.
Bino webijjidde nga olunaku lw’eggulo akakiiko kano akabadde kakulemberwa Eng . Badru Kiggundu kaakoze omukolo ogw’okuwaayo obuyinza naye nga yaafeesi bagiwaayo mu butongole ku lwokuna lwa ssabbiiti eno oluvannyuma lwobuweereza obw’emyaka 14 be ddu.
Ababaka bagamba nti akakiiko kasaanye okulondebwa amangu kasobole okutegeka okulonda okwa zi Municipaali empya ate okwo gattako n’okuddamu okw’okulonda ababaka abo abanaaba abaggyiddwayo mu Palamenti olw’emisango egy’ebyokulonda egigenda mu maaso mu kkooti ejulirwamu .