Nga omukulembeze w’eggwanga ateekateeka okwogera eri eggwanga olwaleero, Bannamasaka boogedde ku nsonga ez’enjawulo zebamusuubira okwogerako.
Okusinziira ku bakulembeze ab’enjawulo mu kibuga Masaka okuli ab’ebibiina ebyenjawulo , bagamba nti Pulezidenti Museveni yaadibadde ayogera ku miwendo gy’ebintu egyekanamye, ebisale by’amasomero okubeera waggulu ddala, ekitta bantu ekiri mu ggwanga n’ensimbi z’abakyala ezaabasuubizibwa.