Pulezidenti Museveni agobye abakulu mu KCCA

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agobye abakungu mu Kitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala oluvannyuma lwa alipoota ya IGG ku kikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Pulezidenti Museveni ngakozesa obuyinza obumuweebwa ssemateeka mu Kawayiiro 172(1) (a) aka ssemateeka wa 1995 agobye abakulu mu kitongole kya@Kampala Capital City Authority – KCCA kulwobulungi bwabantu nga agamba nti okunoonyereza ku nsonga z’e Kiteezi kwayolese obulagajjavu obwakolebwa abakulu bano.
Pulezidenti era alagidde ekitongole kyabambega ekya CID wamu n’ebitongole ebirala ebikola ku buzzi bw’emisango okukola okunoonyereza okwanamaddala ngessira balisimba ku kobaane n’obulagajjavu kukyaggwawo e Kiteezi.
Abagobeddwa kuliko; Mrs. Dorothy Kisaka – Executive Director, http://Engineer Luyimbazi- Deputy Executive Director ne Dr. Okello – Director of Public Health.
Alagidde Public Service Commission okulanga ekifo kya; Executive Director, Deputy Executive Director, ne Director of Public Health, n’ekigendererwa ekyokulonda abantu abalala okujjuza ebifo bino mu myezi 3.
Pulezidenti era alagidde Minisita wa Kampala okulonda abantu abagira nga bajjuza ebifo bino abekiseera okwewala okuziŋŋamya emirimu gya KCCA.

Leave a Reply