Omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akuutidde abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okukomya okulinda nga Gavumenti okubaako kyebakolera abantu wabula bagikwasizeeko okuggusa ensonga ze balaba nti zitwala Eggwanga mu maaso naddala bwegutuuka ku by’obulamu.
Okwogera bino Pulezidenti Museveni abadde aggulawo ettendekero ly’eddwaliro erya Bukedea Teaching Hospital erisangibwa mu Disitulikiti y’e Bukedea eryazimbiddwa Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among era wano wasinzidde okumutendereza olw’obuyiiya bwataddemu okulwanirira ebyobulamu eri ekitundu kyakulembera n’Eggwanga okutwaliza awamu ngayita mu kussaawo ebyobujjanjabi eri Bannauganda.
Pulezidenti bwabadde aggulawo eddwaliro lino ategeezezza nga Sipiika wa Palamenti Annet Anitah Among okuvaayo n’enteekateeka ey’okuzimba eddwaliro eribangula abasawo ng’ate lyakujanjaba n’abalwadde okuli abakyala n’abaana abato ku bwerere nga abaami bokka be basasula agamba kuba kukwasizaako kunene eri Gavumenti okuyita mu by’obujanjabi nokuwa Bannayuganda emirimu.
Ye Sipiika Among Magogo yebazizza omukulembeze w’Eggwanga olwokumuwagira nga mu nteekateeka ze ezokutumbula ebyenfuna nebyobulamu naddala mu baana nabakyala ng’era agamba ettendekero lino Omukulembeze w’eggwanga alirinako ettofaali ddene nga anyonyodde n’ensonga eyamuwa ekirowoozo ku byobulamu.
Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo omubadde Ababaka mu Palamenti, Ba Minisita , Bannaddiini n’abantuabalala.