Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni: “Katonda bwaba yali ayagala tubeere mu Ggulu, lwaki yatuleeta ku nsi? Yatuleeta ku nsi okubaako kyetukola oba okubaawo kyetulongoosa. Kyokola ku nsi kyekisinga obukulu. Hon. Gen Elly Tumwine – MP okufiira ku myaka 68 abadde akyali muto naye bingi byabadde atuuseeko. Ku lwa National Resistance Movement – NRM, UPDF ne Bannayuganda ntuusa okusaasira kwange eri aba Famire ya Hon. Gen Elly Tumwine – MP. Mukirize okusaasira kwaffe.”