Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobulamu Dr. Diana Atwine yavuddeyo nategeeza nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bweyakebereddwa nazuulibwa nti alina COVID-19 olunaku lw’eggulo. Dr. Atwine agamba Pulezidenti mugumu era wakusigala ngakola emirimu gye ngagoberera SOPs.