Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde bayimirize emirimu gy’ekitongole ky’obwannakyeewa ekya Democratic Governance Facility – DGF, nga kino kyekimu ku bitongole ebisinga okuwa ebitongole byobwannakyaawe obuyambi.
Mu bbaluwa Pulezidenti Museveni gyeyawandiika nga 2-Jan-2021, ayagala afune okunnyonyolwa lwaki nabatya aba Minisitule y’ebyensimbi gyebakiriza obukadde bwa Ddoola 100 bwebuwumbi 500.8 okukozesebwa mu ggwanga engeri etali mu mateeka nga n’Olukiiko lwa Baminisita terukitegeddeeko.
Pulezidenti Museveni yawandiikidde Minisita Matia Kasaija nga agamba nti yakitegeddeko nga ekitundu ekinene ku buwumbi 500.8 bwezagenda mu mirimu wamu n’ebitongole ebirwanyisa enteekateeka za Gavumenti mu linnya lyokuteereza obukulembeze nagamba nti kino tekijja kukirizibwa era abantu abenyigiramu balina okunnyonyola.
Pulezidenti yalagidde Omuwandiisi owenkalakkalira mu Minisitule y’ebyensimbi Keith Muhakanizi n’abalala banoonyerezebweko ku ngeri gyebakirizaamu ssente zino okugabibwa nga tebayise mu mitendera emituufu.
Pulezidenti agamba nti Minisitule yagezaako okuteeka omubaka waayo ku bboodi ya DGF wabula nagaanibwa ekitali kyabwenkanya eri Gavumenti.
Pulezidenti yalagidde emirimu gy’ekitongole kino giyimirire okutuusa ng’olukiiko lwa Baminisita lumaze okwekeneenya ensonga eno, abakulembeze abaggya nebalondebwa nga kuliko n’abakiikirira Bannayuganda era nga yalina okubasunsulamu.
Yalagidde IGG, Inspector General of Police, DPP ne State House Anti-Corruption Unit okutandika okunoonyereza ku bakungu abenyigira mukuyisa ssente zino.