Pulezidenti Museveni alagidde Palamenti okuddamu okwekeneenya bajeti

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde Minisitule evunaanyizibwa ku by’ensimbi n’okuteekerateekera Eggwanga eddemu yekenneenye embalirira y’Eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 bakendeeze ku bintu ebisaasanyizibwako ensimbi basobole okuziba eddibu ly’ensimbi ezibadde zisuubirwa okwewolwa okuva mu Bbanka y’Ensi yonna.
Omulimu guno gugenda kukulemberwa Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister ng’ayambibwako Ababaka ba Palamenti basobole okuzuula ebintu ebiri mu mbalirira eno nga bisoboka okusalibwako.
Nabbanja ategeezezza nti Bbanka y’Ensi yonna okuyimiriza okuwola Uganda ssente, lino libeere essomo eri Uganda okuyiga okukekkerezza.
Leave a Reply