Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kyaddaaki avuddemu omwasi ku kukubaganya ebirowoozo okuli mu bantu nti waliwo enteekateeka y’okutaganjula Ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kwalina okukoma okukulembera eggwanga.
Museveni bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu maka goobwa Pulezidenti e Ntebe akawungeezi ka leero , agambye nti aboogera ku bino bali ku bbula bikolwa era abeenoonyeza ebyabwe era abali ku mpulira byogere ng’egalabi ya Nnyanzi. Bwatyo n’ategeeza nti ye tali ku byakisanja, wabula ali ku mirimu gya ggwanga emitongole