Pulezidenti Museveni awadde Ababaka obukadde 100

Waliwo ebigambibwa nti waliwo Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM, ba Independent wamu nabamu okuva mu bibiina ebivuganya Gavumenti abafunye obukadde 100 buli omu ng’ekirabo nga kigambibwa nti zavudde wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Kigambibwa nti ssente zino bazikimye wa Nampala wa Gavumenti mu Palamenti wakati w’essaawa 2 ezekiro ne 3 ezekiro nga April 7 so nga abalala kigambibwa nti abalala bazikimye mu maka ga Sipiika e Nakasero.
Kigambibwa nti zino zabaweereddwa Pulezidenti ngabasiima okweyisa obulungi ssaako n’okuduukirira abo ababadde bamukaabirira nti embeera mbi gyebayitamu.
Omumyuuka wa Munnamawulire wa Pulezidenti Faruk Kirunda bino agaanye okubikakasa yadde tabyegaanye wabula nasaba twebuuze ku kabondo ka Babaka ba NRM.
Ye akulira oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi avuddeyo nategeeza nti kino yakiwuliddeko nti era bakukangavvula Omubaka yenna Munnakibiina kya National Unity Platform ayinza okuba nga yafunye ku ssente zino.
Leave a Reply