Pulezidenti Museveni awagidde ekya Poliisi okuyimiriza enkuŋŋaana za Bobi Wine

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku kya Uganda Police Force okuyimiriza enkuŋŋaana za Pulezdienti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine so nga byo ebivvulu ebisomboola abantu abayitirivu bigenda mu maaso naddala mu Kampala.
Pulezidenti ategeezezza nti ebivvulu bitegekebwa mu ngeri ennambulukufu nga n’abantu abayingira basooka kwazibwa ekitali ku nkuŋŋaana za Kyagulanyi nga kizibu okunyweza eby’okwerinda ate ng’obudde buno Eggwanga liri mu kattu k’obutujju.
Leave a Reply