Pulezidenti Museveni ayagala Kkooti egobe omusango gwa Bobi Wine

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM ngayita mu Bannamateeka be aba K&K Advocates ne Byenkya, Kihika &Company Advocates olunaku lweggulo yawaddeyo empoza ye nga akakasa nti yalondebwa abantu mu kalulu akaali akamazima n’obwenkanya. Pulezidenti Museveni agamba nti akalulu kategekebwa nga kagoberera amateeka okuli; Presidential Elections Act ne Electoral Commission Act nti era tewaali kumenya mateeka nti n’obumulumulu obwalimu tebulina kakwate ku byava mukulonda. Pulezidenti Museveni era agamaba nti sikituufu ntiAkakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda tekalina ngeri gyekamutaatiramu, buli omu kamuyisa kyenkanyi. Ku kyokulonda emirndi emingi, okubba obululu nti si bituufu era nasaaba Kkooti ensukulumu egobe omusango guno ne Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine Munnakibiina kya National Unity PlatformNUP asasule ensimbi zasasaanyizza ku musango guno kuba bawaaba enakub15 eziragirwa nga bamaze okulangirira nga ziyiseeko. Pulezidenti Museveni era awakanya ebigambibwa nti Akakiiko kakolera ku biragiro bye, nti era talagiranga ku babyakwerinda kutataataganya nkungaana ze.

Leave a Reply