Pulezidenti Museveni ayingidde mu nsonga z’abalaalo

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nasisinkanye Abakulembeze mu ttundutundu ly’e Acholi mu Disitulikiti y’e Amuru netukubaganya ebirowoozo ku nsonga ya Balaalo. Oluvannyuma lwokuwuliriza ensonga ezaleeteddwa, nawabudde bwenti;

  1. Ku kyokwonoona ebirime – Nalagidde omuduumizi wa Divizoni ya UPDF, RPC ne Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zamambuka okulaba nti omuntu yenna alina ente nga teziri mu lukomera mu bitundu bye Acholi, Lango ne West Nile abyamuka mu wiki 3 zokka okutandika n’olwaleero.
  2. Obwannanyini bw’ettaka – Njakwogerako n’enjuyi zombi ku lunaku olulala ku nsonga yobwannanyini ku ttaka wamu n’okulipangisa.
  3. Ebyobuwangwa – Abantu abenyigira mu bikolwa ebikontana n’obuwangwa bwa Acholi balina okukikomya mu bunanmbiro.
  4. Ettaka lya Gavumenti – Omuntu yenna ali ku ttaka lya Gavumenti Aswa ranch ne Lakang, neryafunibwa okuweebwa Madvhani group, neddala balina okulyamuka mbagirawo obutasukka wiki 3 okuva olwaleero.
  5. Okulonda ente ezamata – Gavumenti yakuyambako mu kukulaakulanya obusuubuzi bwamata mu kitundu ky’e Acholi.”
Leave a Reply