Pulezidenti Museveni ekkolero lyayaggulawo emirundi 3 litundibwa

Ekkolero Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lyeyaggulawo emirundi 3 okukola eddagala ne mRNA vaccine e Kigoogwa, matugga mu Disitulikiti y’e Wakiso mu 2020 liteekeddwa ku katale lwamabanja.
Ebbanja eriviiriddeko ekkolero lino okutundibwa kigambibwa nti kkampuni ya Dei Biopharma Limited, eyali emanyiddwa nga Dei Natural Products International Limited yeyowola ensimbi zino wabula nezigiremerera okusasula.
Ekirago ekyafulumiziddwa aba Kaweesi and Partners Advocates nga 14-September kiraga nti ekkolero lino eryateekebwayo ng’omusingo lyakutundibwa mu naku 30 okuva ekirago lwekyafulumya singa tebasasula nsimbi zibabangibwa nga zino zibalirirwa eyo mu kawumbi 1 n’obukadde 800.
Kigambibwa nti kkampuni ya Dei yewola ensimbi okuva mu bbanka 2 mu Uganda wamu ne Uganda Development Bank okusobola okuzimba ekkolero lino wamu n’okulagiriza ebyuuma ebiri ku mulembe okuva ebweru w’eggwanga wamu ne capital wabula neremererwa okusasula ensimbi zino.
Ebintu ebirala ebiteereddwa ku katale kuliko ebyobugagga bya Kkampuni eno okuli; ekyuuma ekikola eŋŋano ekisangibwa e Luzira, eddwaliro e Kitende, amaka agapangisibwa e Muyenga, ekizimbe kyamadduuka e Sseguku wamu n’ekifo kyaminzaani.
Kinajjukirwa nti Pulezidenti Museveni yaggulawo ekkolero lino emirundi 3 nga ogwasooka gwaliwo nga 3-June-2020 wabula bweyitawo emyaka nga terinatandika kukola olw’ensobi mu nzimba. Pulezidenti Museveni yaddamu nakyala era naliggulawo ne mune bwebafaananya emirimu owa Kenya William Ruto mu 202. Era abakulembeze bombi kuluno batendereza nnyo Magoola ngono yali emabega w’ekkolero lino olwomulimu ogwettendo.
Omukolo guno gwaliko; Minisita w’ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero, Minisita wa Ssaayansi, Tekinologiya n’obuyiiya Dr. Monica Musenero, Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku makolero David Bahati, omukiise w’ekitongole kyebyobulamu ekyensi yonna ekya World Health Organization Yonas Tegega Woldemariam, Dei Bio Pharmacy chairman Managing Director Mathias Magoola, Dei group Director Kellen Magoola, USA advisor Food and Drug Authority Prof Sarfaraz Niaz n’abalala.
Wabula Pulezidenti Museveni yaddamu naggulawo ekkolero lino nga 20-October-2022 era ku luno yali mukambwe nnyo era navumirira nnyo abo abalemesa Magoola okutuukiriza ekiruubirirwa kye.
Pulezidenti yategeeza nti Magoola mulwanyi atawangulwa kuba yasobola okuyita mu lutalo lw’Abayindi beyali akolaganye nabo ate nebamubba.
Ekkolero lino lyasooka kuteekebwa ku katale nga 15-December-2022 nga wakayita emyezi 2 gyokka nga Pulezidenti Museveni yakaliggulawo omulundi ogwokusatu.
Ebirango bino byalabikira mu lupapula lwa New Vision ne Daily Monitor wabula ebyaddirira tebyamanyibwa.
Kuntandikwa y’omwaka guno Minisita w’ebyenfuna Matia Kasaija yavaayo nategeeza nga Gavumenti bweyali enetegefu okutaasa Magoola nti era Gavumenti yali netegefu okufunamu emigabo. Baminisita 10 basindikibwa ku kkolero lino okwetegereza oba nga kwali kusalawo kutuufu Gavumenti okuteekamu ensimbi era Magoola nabategeeza nga bwebaali betaaga lwakiri obukadde bwa ddoola 600 nti era mu myaka Uganda yali ejja kuba emaze okufuna obuwumbi bwa ddoola 5 okuva mu bizineesi eno.
Palamenti omwaka guno yayisa obuwumbi 70 ziweebwe Dei Pharma Limited oluvannyuma lwa Magoola okutegeeza Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku mbalirira nti yali yetaaga akawumbi ka ddoola 1.
Wabula Ababaka Ssemujju Nganda ne Muwanga Kivumbi bawakanya ssente zino nga bagamba nti Gavumenti baali bagifera kwekumuwa obuwumbi 70.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Kizza Amooti yakola atya?!

Kizza Amooti yakola atya?! ...

25 0 instagram icon
Abakungubazi beyiye ku Kkanisa ya St. Mark Namate Entebe okwetaba mu misa y'okusabira omwoyo gwa Bishop eyawummula Samuel Balagadde Ssekadde eyafiiridde mu Ddwaliro e Kisubi.
Bya Shanitah Nabwabye 
#ffemmwemmweffe

Abakungubazi beyiye ku Kkanisa ya St. Mark Namate Entebe okwetaba mu misa y`okusabira omwoyo gwa Bishop eyawummula Samuel Balagadde Ssekadde eyafiiridde mu Ddwaliro e Kisubi.
Bya Shanitah Nabwabye
#ffemmwemmweffe
...

15 0 instagram icon
Ekibiina ekitwala omuzannyo gw'emotoka z'empaka mu Ggwanga ekya FMU olunaku olwaleero batongozza empaka mwebagenda okusondera ssente zokugulira omuvuzu w'emotoka zempaka Ismail Ortega asobole okuddamu okuvuganya.
Bya Nampala Yusuf 
#ffemmwemmweffe

Ekibiina ekitwala omuzannyo gw`emotoka z`empaka mu Ggwanga ekya FMU olunaku olwaleero batongozza empaka mwebagenda okusondera ssente zokugulira omuvuzu w`emotoka zempaka Ismail Ortega asobole okuddamu okuvuganya.
Bya Nampala Yusuf
#ffemmwemmweffe
...

9 1 instagram icon
Ttiimu y'Eggwanga Uganda Cranes ekubye ginaayo ey'Eggwanga lya South Sudan ggoolo 2 ku 1 mu mupiira ogwokuddingana nga basunsula abanakiika mu kikopo kya AFCON.
#ffemmwemmweffe 
#AFCONQ2025
#SSDUGA

Ttiimu y`Eggwanga Uganda Cranes ekubye ginaayo ey`Eggwanga lya South Sudan ggoolo 2 ku 1 mu mupiira ogwokuddingana nga basunsula abanakiika mu kikopo kya AFCON.
#ffemmwemmweffe
#AFCONQ2025
#SSDUGA
...

45 1 instagram icon
Kitalo!
Bishop Emeritus Samuel Balagadde Ssekadde afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Kisubi gyabadde afunira obujjanjabi.
 #ffemmwemmweffe

Kitalo!
Bishop Emeritus Samuel Balagadde Ssekadde afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro e Kisubi gyabadde afunira obujjanjabi.
#ffemmwemmweffe
...

39 8 instagram icon