Omubaka Kira Municipality Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nalaga obwenyamivu nti enguudo eziri mu Kololo ne Nakasero okuliraana amaka g’Omukulembeze w’Eggwanga ziyitiridde okuggalwa buli Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lwaba n’enkiiko, kino kitaataaganya bizineensi z’abantu abaliraanyeewo. Hon. Ssemujju agamba nti osanga Pulezidenti Museveni asaana okufunira oluggya olugazi akomye okutaataaganya Bannansi nga aggala enguudo.