Pulezidenti Museveni wakwogerako eri Palamenti enkya

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, mbalamusizza. Kati enaku ziri 7 okuva lwenakeberebwa nensagibwa n’ekirwadde kya COVID-19. Nga bwenabategeezezza olunaku lw’eggulo nti nali siwulira bulwadde naye nali mpuliramu olusujjasujja. Mpulira nti kekaseera nveeyo mukweyawula. Wabula olwaleero nzizeemu okwekebeza era nga nkyalina COVID-19. Ekyomukisa Maama Janet Kataaha Museveni ye tamulina kuba tugoberera ebiragiro.
Eyayogeddeko nange ku Social media n’abalala benayogedde nabo ku ssimu, babadde bangamba nti okwekebeza oluvannyuma lwenaku 4 oba wiiki mbeera mpapye, wabula nabadde nina okukikola kuba nabadde nina okubeera ne ba Pulezidenti abalala 6 okuva mu Afirika okuli owa; Comoros, Egypt, South Africa, Senegal, Congo- Brazzaville ne Zambia nga tubadde tulina okubeera e Poland enkya olwo tulinnye eggaali y’omukka okugenda e Kiev okugezaako okutabaganya Russia ne Ukraine. Mbadde nina okubeera nabo naye mbaweereza obubaka nebategeeza nti nsindise Dr. Rugunda ankiikirire era nga ali Poland kati.
Olwokuba sigenda Kiev ne Russia, njakusobola okwogerako eri Palamenti enkya nga nesudde ebbanga lya mita 300 ku lunaku lwokusoma embalirira, kati obuvunaanyizibwa mbukwasizza VP Alupo. Olwokuba sitambula, ajja kulambula enyiriri z’amaggye olwo nze njakuwa obubaka obusembayo ku nkomerero y’okusoma embalirira.
Ntaddeko omukono;
Yoweri K. Museveni Ssaabalwanyi”

Leave a Reply