Pulezident Yoweri Kaguta Museveni olunaku lweggulo yasimbudde emotoka endala 25 ezaweereddwayo abazirakisa okuyamba okulwanyisa ekirwadde kya #COVID19 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ku mukolo guno ogwabadde ku Kololo Independence Grounds, Pulezidenti Museveni yalabudde Bannayuganda nti ekirwadde kino kikyaliwo ate kizibu nnyo kuba kitta.