Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yeeyamye okukwatagana n’Eklezia y’Abasodokisi mu ggwanga ku mirimu gy’enkulaakulana gy’ekola omuli okutumbula ebyenjigiriza, eby’obulamu n’ebirala mu Bannayuganda.
Bino yabyogedde bwe yabadde ayanjulirwa Bisopu w’Abasodokisi Bp. Silvester Kisitu ng’ono y’agenda okutwala ekitundu kya Klezia eky’obukiika kkono (Gulu) n’obuvanjuba (Jinja) ng’omukolo gwabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe mu Busiro ne yeebaza Klezia olw’omulimu gwekoze bukya ereetebwa mu Uganda kati emyaka 100.
Ekibinja kya Klesia kyakulembeddwamu Metropolitan Jonah Lwanga ng’awerekeddwako Viika w’Eklisia Rev.Fr. Paul Mutaasa, Archmandrite Constantine Mbonabingi era ono nga ye Ssabawandiisi wa UJCC,Omubaka w’e Lwemiyaga mu Palamenti, Theodore Ssekikubo, Bakadde ba Bp Kisitu n’abalala.
Bano bategezezza Museveni nga Bp Kisitu bwagenda okutuuzibwa mu butongole e Gulu nga February 17,2019 ku Lutikko y’Omutukuvu Lavrendios ate omukolo omulala ogw’okwolesa okwawulibwa kwe mu bukulu buno kulikolebwa mu kibuga Jinja nga February 24,2019 mu klesia eyitibwa Holy Resurrection Church.
Pulezidenti Museveni yayozaayozezza Abasodokisi olwa Klezia okubeera okweyongera okugaziwa mu nkola y’emirimu n’agamba nti waakwetaba mu ngeri yonna esoboka ku mikolo gy’okutuuza Bp Kisitu ate mu May 2019, Klezia bw’enaaba ejaguza emyaka 100 bukya ejja mu Uganda, waakubeerawo mu buntu.
Bp. Kisitu yayawulibwa nga December 16,2018 mu Klezia y’Omutukuvu Savvas mu Alexandria- Misiri ng’era mu Uganda yakomyewo nga Bisopu ku Lwokutaano Janaury 25, 2019 ate n’ayimba mmisa ye esooka mu Uganda okuva lwe yayawulibwa ku Ssande January 27, 2019 ku Lutikko enkulu e Namungoona mu Kampala.