Pulezidenti wa Rwanda, Paul Kagame atadde omukono ku ndagaano ne munne owa Democratic Republic of the Congo Felix Tshisekedi okukomya obutakkaanya bwebabadde nabwo mu myezi egiyise nga buli omu alumiriza munne okuwagira abayeekera abaagala okutambula emirembe mu nsi zino.
Bano endagaano bagikoledde mu kibuga Luanda ekya Angola era Pulezidenti Joao Lourenco yabaddewo ng’omujulizi.