Agava e Mali galaga nga Pulezidenti Ibrahim Boubacar Keïta wamu ne Ssaabaminisita Boubou Cissé bwebakwatiddwa mu kirowoozebwa okubeera okuwamba Gavumenti.
Kigambibwa nti bino byonna byatandise n’amasasi enkya yaleero okuliraana ekibuga Bamako wamu n’okuwambibwa kw’abaduumizi abo kuntikko nga bawambiddwa b’offiisa abawansi nebabasibira mu kizimbe olwo nebasalako ekitundu kya kiromita 15 okutuuka ku Kati Camp okuva mu Bamako.