Puliida wa Mbabazi asabye abalamuzi basazeemu okulondebwa kwa Museveni.

FB_IMG_1457941025569

Puliida wa John Patrick Amama Mbabazi asabye abalamuzi basazeemu okulondebwa kwa Museveni.

Muhammad Mbabazi (Puliida) agamba nti tewali nsonga ya ssimba kwebaasinziira kulangirira Museveni ku buwanguzi mu kalulu ka nga 18. 02. 2016, okusinziira ku kwewozaako kwa Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kiggundu,tewali tteeka limusobozesa kulangirira  ng’akozesa e byuma bikalimagezi ku byamuweerezebwa okuva my zi disitulikiti.

Mbabazi era ajungunguludde okwewozaako kwa Kiggundu nga akalaatira nti etteeka eririwo lya kukozesa mpapula zi (DR) ez’obuliwo ku bivudde mu kulonda so ssi ku mikutu yadde gyakola bulungi e Kenya, Ghana ne Phillipine

Ayongerako nti ekya Gavumenti okuggyako emikutu gya Yintaneeti kimeya mateeka era kyakugira okunganya obujulizi.

Leave a Reply