Omubaka wa Pulezidenti ow’ekibuga Kampala Huddu Hussein avuddeyo nawa abatambeeyi abatundira ku nguudo za Kampala okutuusa nga 16-January-2022 okuba nga bavudde ku nguudo zino oba bagenda kugibwako n’ekifuba.
Huddu agamba nti enkyuukakyuuka eziwerako zigenda kukolebwa mu Kibuga Kampala era tewali asobola kulemesa nkyuukakyuuka yonna bweba nga egenderera kutereeza kibuga. Agamba nti ensonga zabasuubuzi bano ziteekeddwamu ebyobufuzi so nga obutale nga USAFI ne Wandegeya bukalu.