RDC addizza Obwakabaka e kizimbe mwabadde akakkalabiza emirimu gya Gavumenti.

E kizimbe ekyogerwako kiri Mityana ku mbuga ye Ssaza Ssingo, e bbanga ddene kibadde kikozesebwa nga e kakkalabizo lya Ababaka ba Pulezidenti e Mityana newankubadde Omukulembeze w’Eggwanga yali yalagira ebitongole bya Gavumenti byamuke ebizimbe by’obwakabaka oba basasule obusuulu obw’obupangisa.
Olwa leero RDC we Mityana Mukiibi Joseph, atadde mu nkola ebyakkaanyizibwako mu ndagaano eyakolebwa wakati wa Ssaabasajja Kabaka ne Pulezidenti Museveni okuzza ebintu by’Obwakabaka bwatyo mu butongole n’akwasa Omwami we Ssaza Ssingo, Mukwenda Oweek Deogratious Kagimu e Kizimbe kino.
Nga akwasibwa e Nnyumba eno, Mukwenda Oweek Deogratious Kagimu, asabye Ababaka ba Pulezidenti okutwala eky’okulabirako kino nabo bakomyewo ettaka n’ebizimbe eri Obwakabaka kuba bwe bu nannyini byo.
Mukwenda e Nnyumba eno agikwasizza Omumyuka we owokusatu Mw. Jjumba Stephen lifuuke ekakkalabizo lye n’ebitongole by’atwala okuli; Obusuubuzi n’obutale, abakadde, eby’obuwangwa e nnono n’Obulambuzi, Polojekiti n’enkulaakulana.
We twogerera bino mga e kipande kimaze okusimbibwa ekiragirira abantu ku buweereza bw’e kakkalabizo lino.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka wa Mukwenda asooka Mw. Tusuubira Moses n’abantu abalala.
Leave a Reply