RDC ne Diso e Kayunga baleese alumiriza aba NUP okumusuubizi ssente bagambe nti yabuzibwawo

Olunaku lw’eggulo RDC wa Disitulikiti y’e Kayunga Moses Ddumba ne DISO Barasa Kildon bayise olukiiko lwa Bannamawulire bukubirire nebaleeta omusajja Martin Lukwago 45, gwebagamba nti yazze gyebali nga agamba nti yalabikidde ku lukalala Abakulu mu Kibiina kya National Unity Platform lwebafulumizza mu nnamba 13.
RDC Ddumba bweyabadde ayanjula Lukwago eri Bannamawulire yategeezezza nti azze kumalawo bulimba bw’Abakulembeze ba NUP.
Okusinziira ku RDC, agamba nti Lukwago yazze ku offiisi ye namutegeeza nti yalabikidde ku lukalala NUP lweyafulumizza nti wabula ye tawambibwangako yadde okuwambibwa abebyokwerinda nga NUP bwegamba.
Lukwago agamba nti abadde abeera ku kyalo Kamuli e Kangulumira 2021, ono agamba nti nga 19-January-2021 yatomerwa emotoka eyali edduka e Kibuye era natwalibwa mu Ddwaliro e Mulago nga amenyese okugulu.
Ono agamba nti nga wayise enaku 3 ngali Mulago yasalawo okukyuusa eddwaliro nti era wano Bannakibiina kya NUP webamusangira nebamutuukirira nebamusaba bamuteeke ku lukalala lw’abantu baabwe abalumizibwa mu kunoonya akalulu.
Ono agamba nti teyali muwagizi wa NUP era yasooka nagaana nti wabula olwokuba yali yetaaga ssente okusasulira eddwaliro yakiriza nti wabula ensimbi zino zebamusuubiza teyazifuna yadde ng’abadde ajjukizanga abakulembeze mu NUP.
Ono yasabye abakulembeze mu NUP okusimuula erinnya lye ku lukala.
Lukwago bweyabuuziddwa Bannamawulire mu kusooka omulimu gweyali akola yategeezezza nti yali atunda ngoye nkadde wabula neyekyuusa mangu nti yali atunda mbaawo. Bwebamusabye ebimwogerako okulaga nti ye Lukwago Martin nabategeeza nti talina National ID.
Abakulembeze mu NUP batuukiridde aboluganda lwa Martin Lukwago omuwagizi waabwe eyabuzibwawo nebabalaga ebifaananyi era mukyala we nategeeza nti omusajja eyeyise Lukwago tamulabangako. Lukwago yawambibwa okuva mu Katale e Bugoloobi mu November 2020 era nga taddangamu kulabibwako.
Leave a Reply