Red Cross etandise okwojiwaza abantu ku namuttikwa w’enkuba

Uganda Red Cross Society, ekimu ku bitongole ebidduukirize mu ggwanga kitandise Kampeyini mwekyagala okuyita okwojiya abantu naddala mu bifo ebiyinza okuba ebyobulabe kubanga enkuba etandise okwelula n’okufudemba mu bitundu ebitali bimu e by’egwanga, kubanga bw’eneetonnya wandibaawo okuyimbulukuka kw’ettaka n’ebitundu ebimu amazzi okwanjaala ate ebirala ne gafuukira ddala amataba.

Kino kyekiddiridde ebifo enkuba byetonnyeemu gamba nga e Bundibugyo  mu bugwa njuba bwa Yuganda n’ebitundu nga eby’ensozi gambalagala ez’e Masaaba ettaka neriyimbulukuka enfunda eziwera, abantu abasinga nebafa ate abalala amayumba gaabwe negagwa, ebirime ebisinga nebisanyizibwawo , ensuku n’ebintu ebirala abantu abasinga nebatandika kwanjala ngalo.

Irene Nakasiita ayogerera ekitongole kya Uganda Red Cross Society ayogeddeko n’omusasi waffe nga gamba,

” Tutandise omusomesa abantu, tubawa message ezibategeeza okuba prepared kubanga n’emabegako awo ennyumba mukaaga zaatokomokedde mu namuttikwa w’enkuba mu Mt. Rwenzori Area”. 

Leave a Reply