Registrar wa NRM e Ibanda akwatiddwa Poliisi ku byekuusa ku kufa kwa Mukyala we

Poliisi e Ibanda yakutte Amwiine Innocent ngono Registrar wa National Resistance Movement – NRM kubigambibwa nti yakuba mukyala we Amanya Macklline Human Resource Officer owa Ibanda Municipality bubi nnyo oluvannyuma namusibira mu nnyumba okumala enaku, nga kigambibwa nti yali amulowoleza okwenda. Taata wa Macklline yeyamutaasa namuddusa mu ddwaliro.
Amanya yafuna ebisago ebyamaanyi naddusibwa mu ddwaliro lya Kampala International University Teaching Hospital e Ishaka, gyayamala ebbanga ngajanjabwa naafa ku lwomukaaga wiiki ewedde.
Leave a Reply