Kooti y’ekinnamagye e Makindye ezzeemu okuwulira omusango gwa eyaliko omukwanaganya w’ebitongole ebikkessi General David Sejusa era w’ekitegeeredde nti Ssejusa tasabangako kuva mu mirimu gya magye .
Obujulizi buweereddwa Brig. Joseph Musanyufu – Chief of Personnel and Administration mu magye g’eggwanga – UPDF alabiseeko mu kooti y’ekinnamagye okuwa obujulizi .
Musanyufu agamba nti Sejusa tassangayo kusabakwe mu butongole okw’okunnyuka emirimu gy’ekinnamagye era yafulumidde mu lukalala lw’abamagye olufulumye mu mwaka guno 2016 ku namba ROO31 . Ayongerako nti Sejusa akyali munnamagye omujjuvu eyateeka omukono ku ndagaano y’okuweereza amagye obulamu bwe bwonna , nti era yamenya amateeka bweyewaggula n’ava ku mirimu okugenda e Bungereza .
Wabula ye General ejusa addiziddwayo mu nkomyo e Luzira okutuusa nga 18 . 03. 2016 . lw’anaakomezebwawo mu kooti .