Ekiwayi ky’Obuyisiraamu eky’e Kibuli kirangiridde Sheikh Muhammad Galabuzi nga Supreme Mufti wa Uganda. Sheik Galabuzi azze mu bigere bya Sheikh Sulaiman Kasule Ndirangwa. Ono amyuukibwa Sheik Ibrahim Ntanda ne Sheik Mahad Kakooza. Bino birangiriddwa Sheik Abdulnoor Lunaanoba.
Mu kifaananyi ye Sheik Ndirangwa.