Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo nategeeza nti eyali omumyuuka we ngayita mu muyambi we yatwala obukulembeze bw’ekibiina mu Kkooti ngayagala Kkooti emuwere obutenyigira mu byabufuzi okumala emyaka 10. Ono agamba nti ensonga eno eri mu Kkooti yekyalemesezza Ssemateeka w’ekibiina omuggya okuba ngawandiisibwa. Ku biwandiikibwa CDF ku mutimbagano gwa X ategeezezza nti CDF atyoboola Ssemateeka w’Eggwanga nga yenyigira mu byobufuzi so nga akyali mu maggye g’Eggwanga. Bobi Wine ayongeddeko nti ekyokumutiisatiisa okumutemako omutwe takitutte nga kyakusaaga nti wabula tajja kutiisibwatiisibwa mulundi n’ogumu. Ono ayongeddeko nti bwobeera ne Katonda ku ludda lwo teri mulyammere ayinza kukutiisatiisa.
Bya Kayanja Ernest
#ffemmwemmweffe
Sijja kukiriza kutiisibwatiisibwa kukolebwa CDF – Bobi Wine
