Omubaka akiikiria Nakaseke South Lutamaguzi Ssemakula avuddeyo nateeka Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire aveeyo yetodere Bannayuganda wamu ne Bannamawulire abawambibwa n’abalala abakubwa mu kalulu ka Kawempe North. Wabula Minisita Otafiire kino akigaanye era namutegeeza nti byonna ebyaliwo byatuukawo nga tali mu Ggwanga era yali Zimbabwe. Ayongeddeko nti Minisitule ye yevunaanyizibwa ku basirikale ba Uganda Police Force wabula abatamanyangamba abakuba abantu sibebavunaanyizibwako.
#ffemmwemmweffe
Sijja kwetondera Bannamawulire kuba saaliwo mu Ggwanga – Minisita Otafiire
