Sipiika alagidde Ssaabaminisita okuvaayo ku kyaba RDC okugaana emikolo gy’ababaka ba Opposition

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bwangu n’ekiwandiiko ku byokuyimiriza emikolo egitegekebwa Ababaka nga kino kikolebwa ba RDC. Kino kidiridde enkwata etali yabuntu wamu n’okutulugunyizibwa kw’omubaka Omukyala Munnakibiina kya National Unity PlatformNUP owa Disitulikiti y’e Buvuma Hon. Susan Mugabi nga kino kyakolebwa abebyokwerinda bweyali ateeseteese omukolo gwolunaku lw’abakyala. Tayebwa ategeezezza nti kati embeera gyetulimu RDC alaga nti alina obuyinza okusinga ne Ssaabaminisita, kuba omumyuuka wa Ssaabaminisiya Hon. Lukia Nakadama yali yakayimiriza ba RDC obutaddamu kulemesa Babaka ba Palamenti kukola mikolo mu bitundu byebakiikirira.

Leave a Reply