Oluvannyuma lwa Namwandu wa Dr. Paul Kawanga Ssemogerere, Germina Namatovu okutegeeza nga bba bwebadde tayagala mmundu nti era ekya Gavumenti okumukibira emizinga akigaanye Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister yevumbye akafubo ne Gen. Edward Katumba Wamala, abamaggye wamu n’abasirikale ba Poliisi ababaddewo. Oluvannyuma Ssaabaminisita abategeezezza nti ye mutume atasobola kuwakanya kiragiro kyamuweereddwa nti nga bwekiri nti Dr. Paul Kawanga Ssemogerere bweyaliko Ssaabaminisita abadde alina okukubirwa emizinga 17 era egikubiddwa. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awaddeyo amabugo ga bukadde 20.
Sisobola kukyuusa kiragiro ndi mutume emizinga girina okukubibwa – Rt. Hon. Nabbanja
