Eyaliko Ssaabaminisita wa Yuganda Amama Mbabazi John Patrick avuddeyo nategeeza nga bwakomyeewo neyegatta ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era n’okwenyigira obutereevu mu mirimu gy’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM.
Mbabazi bino yabyogeredde mu Kampala bweyabadde asisinkanye ba kansala ba NRM 138 okuva mu magombolola agakola Kampala okuli; Nakawa, Kawempe, Rubaga, Makindye, ne Kampala Central.
Mbabazi eyakiikiridde Pulezidenti Museveni yagambye nti tavanga mu kibiina kya NRM wadde nga yalina obutakkaanya ne Pulezidenti obwamuleetera okumwesimbako mu kalulu ka 2016.
Ono yagambye abo bonna abibetyebeka nti yava mu NRM olwokuba yesimba ku Ssentebe w’ekibiina banuune ku vvu kuba tasobola kuva mu NRM kuba yomu ku bagitandikawo. Mbabazi agamba nti asirise ku bintu bingi byatayinza kwogerako kati wabula akadde bwekanatuuka ajja kutuula naba NRM babyogereko nti era tasobola kusuulawo Pulezidenti Museveni yadde nga balina obutakkaanya.