South Africa etandise okubaga ku nteekateeka zaayo oz’okwabulira kkooti y’ensi yonna (ICC) nga bagamba nti egenderera kunyigiriza Bafirika.
Nabwekityo esindise ekiwandiiko ekyoleka ekiruubirirwa kyabwe eri ekibiina ky’amawanga amagatte , kino wekiggyidde nga ne Burundi y’akamala okuyisa ekitteeso ky’okuwanduka mu kkooti y’ensi yonna.
Kinajjukirwa nti mu mwaka oguyise, South Africa yagaana okugombamu obwala omukulembeze w’eggwanga lya Sudan, Omar Al – Bashir bweyali agenze mulukungaana lw’amawanga g’olukalu lwa Africa olwatuula mu kibuga Johannesburg songa nga yali yeetaagibwa Kooti y’ensi yonna awerennembe n’emisango gy’ekitta bantu wamu n’okuwakula entalo .
Ebitongole by’amawulire eby’enjawulo nga ne Luboggola mweri bifunye ekiwandiiko ekiraga okuwanduka kwa South Africa mu nteekateeka eno nga kiteekeddwako omukono Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga owa South Africa .