Bannamateeka ba Rev. Tugumehabwe Christopher bavuddeyo nebawandiikira eyali Ssaabalabirizi Stanely Ntagali nga baagala abeere omujulizi mu musango gw’okwawukana wakati wa Rev. Tugumehabwe Christopher ne Tukamuhabwa Judith.
Bannamateeka bagamba nti omuntu akitegeddeko nti yali ayenda ku mukyala we nti era amulinamu n’omwana gweyamuzaalamu nga bali mu bufumbo.
Bongerako nti era bakitegeddeko nti Ssaabalabirizi yawagira era nawabula omukyala okuteekayo omusango mu Kkooti bawukane. Nti era bakitegeddeko nti okuva ku mikutu gya ‘social media’ nti yakirizza nti ddala kituufu yayenda ku mukyala w’omuntu waabwe nti era obujulizi babulina obw’eddoboozi ne vidiyo.
Bagamba nti eneyisa ya Ssaabalabirizi yakosa ekitiibwa ky’omuntu waabwe, okumalawo obufumbo bwe, okweralikirira, okuswala, okutyoboola ebyaama bye, okufiirwa omulimu gwe ogwa Lecturer Bishop Barham University Collage wamu n’okukendeeza emikisa gye egyokukuzibwa mu Kkanisa.
Baagala Ssaabalabirizi akole bino:
– Okusasula ensimbi obukadde 500 okumuliyirira ebyamutuukako.
– Okusasula obukadde 30 nga ensimbi zasaasanyizza mu musango gwokwawukana.
– Okuvaayo yetonde mu butongole eri omuntu waabwe.
Bagamba nti singa alemererwa okutuukiriza bino mu naku 14 baweereddwa obuyinza bamutwala mu Kkooti.