Ssaabalamuzi wa Yuganda Bart Katureebe alonze omumyuka wa Registrar Vincent Emmy Mugabo okuba Omwogezi w’ekitongole ekiramuzi mu ggwanga.
Mugabo okulondebwa kwe kutandikiddewo okukola era nga agenda kukola emirimu emiggya egy’okwogerera ekitongole ate n’okusigala ku gyabaddeko egy’okumyuka Registrar avunaanyizibwa ku gy’obusuubuzi mu kkooti enkulu mu Kampala.
Ensoga zino zonna zaategeezeddwa abakozi bonna mu kitongole kino nga ennaku z’omwezi 30 ogwomukaaga omwaka guno era nga eyataddeko omukono ye Paul Gadenya Walimbwa nga ye Chief Registrar.
Mugabo agenda kukwasaganya ensonga z’okwogerera ebitongole ekiramuzi wamu n’ekolagana yaakyo n’abantu bonna mu ggwanga era agenda kukulemberamu awamu n’okukolera awamu n’abakugu abawerako ku nsonga ezikwatagana n’ebyempuliziganya .
Ssaabalamuzi Katureebe yasiimye Erias Omar Kisawuzi abadde akola mu kitongole kino awamu n’omukyala Ssali Harriet abadde amumyuka nti kubanga bakozi omulimu makula ddala. Kisawuzi ye asigazza yaafeesi eya Registrar ku Kunoonyereza awamu n’okutendeka ku nsonga ezitali zimu mu kitongole ekiramuzi ate nga ye Ssali agenda kuba omusigire wa Registrar mu kkooti ejulirwamu n’ekotongole kya Kkooti ekiwozesa emisango eminene ddala.