SSAABALAMUZI AWAMBYE FAYIRO YANGE;
Wabaddewo katemba tali musasulire ku Kkooti Ensukkulumu Omulamuzi Dr. Esther Kisakye bwavuddeyo nategeeza nga fayiro ye erimu ensale ye ku nsonga ya Kyagulanyi Ssentamu Robert aka
Bobi Wine
okuggyayo okusaba kwe mu Kkooti eno bwewambiddwa ku biragiro bya Ssaabalamuzi Alphonse Owiny-Doolo.
Ebyuuma okwogererwa bigiddwako n’amasanyalaze ne Bannamawulire nebalagirwa okwamuka ekifo kino mu bwangu nga ne Balamuzi banne 8 ababadde balina okudda okibaawo nga asoma ensala ye tebalabiseeko.