Ssaabalamuzi Owiny-Dollo yetondedde Kabaka

Okusinziira ku lupapula lwa Daily Monitor; Ssaabalamuzi wa Yuganda Alphonse Chigamoy Owiny-Dollo yeetonze olw’ebigambo eby’ensimattu bye yayogera ku Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nti bweyali agenda mu Bugirimaani okufuna obujanjabi bakozesa nnyonyi ya Pulezidenti.
Yagambye nti akasunguyira keekaamwogeza bye yali tasengezze bulungi era n’asaba asonyiyibwe. Yagambye nti wakuwandiikira Katikkiro Charles Peter Mayiga ebbaluwa mu butongole.
Leave a Reply