Ssaabaminisita wa Buyindi Shri Narendra Mod eyatuuse olunaku lw’eggulo mu ggwanga ku bugenyi bwe obw’enaku ebbiri. Ono agenda kwogerako eri Olukiiko olukulu olw’eggwanga. Ono ye Ssaabaminisita wa Buyindi asoose okukyala mu Uganda oluvannyuma lw’emyaka 20.
Modi wakukwasa Uganda Cancer Institute Unit za Cancer 3 okuli ebbiri ezawebwayo Gavumenti ya Buyindi, n’emu eyawebwayo ekibiina kya Madhusudan Agrawal foundation.
Agrawal Madhusudan yagambye nti ekitongole kye kyavaayo okudduukirira omulanga gwa Uganda ogw’okubangula abasawo ba Uganda wamu n’okuwaayo ebyuuma ebiyamba ku balwadde ba Cancer wamu n’abemitima ababadde batwalibwa mu Buyindi okufuna obujanjabi.
Yagambye nti foundation yawaayo emotoka erimu ekyuuma kya mamograph nga eno yakuyamba okukebera Cancer mu bakyala ababeera mu byalo etali byuuma bino okusobola okuzuula cancer nga tanasajjuka. Modi wakuteeka omukono ku ndagaano wakati wa Uganda Cancer Institute ne ddwaliro lya Tata Memorial Hospital erisangibwa mu Buyindi egenda okutondawo enkolagana mukunoonyereza, okutendeka wamu n’okuwa amagezi ku bikwatagana n’ebyobulamu.