Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akolezezza omuti gwa Ssekukkulu era nayagaliza abantube egandaalo ery’essanyu.
Beene abadde yeetabye ku mukolo gw’ennyimba z’amazaalibwa ku Bulange nga ali wamu ne Nnabagereka Sylivia Nagginda.
Mu kwogera Kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti, Omwaka 2018 gubadde gwa kujaguza jubireewo mu bwakabaka, era ebitongole by’obwakabaka byayingizibwa butereevu mu nteekateeka zonna.
Asabye abakozi b’obwakabaka okufaayo ku mirimu nga bakola n’amaanyi, babeere beerufu, beewale okwekwasa obusongasonga.
Abaweereza okuva mu bitongole by’obwakabaka byonna bakoze choir emu era bebakulembeddemu okuyimba. Choir endala okuli eya Katwe Martyrs, St Joseph Ndeeba, Jehovah Shalom, nazo ziyimbye. Katikkiro akwasizza ebirabo abaweereza abasukkulumye ku bannaabwe omwaka guno okubadde ne Mw. Naggenda Eric aweerezza obwakabaka okuva mu myaka gye nkaaga (1960’s) ate nga musirikale wa Katikkiro, yasinze mu bakozi abali wansi wa woofiisi ya Katikkiro (eggwanika).
Okusinziira ku Katikkiro, leero woofiisi lwezikomye okukola okutuusa nga
7th/January 2019.