Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akulisizza Abaami abaweereddwa obuvunaanyizibwa obutali bumu era neyeebaza abaami abawummudde olw’ettofaali lyebatadde ku kuzimba Buganda. “Twagala abavubuka okwegomba obuweereza bwammwe, okulagira ddala nti tusobola okuweereza obulungi nga tugoberera amateeka n’ennono.”