Ssaabasajja alambudde Masaka

Ssaabasajja Kabaka alambudde Ssettendekero wa Muteesa I Royal University e Kirumba Masaka okwekeneenya emirimu egikolebwayo.
 
Ayaniriziddwa omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, Ssentebe w’olukiiko olufuzi Dr. Ssebbowa, Minisita w’eby’enjigiriza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, n’abakulembeze ba University ku mitendera egy’enjawulo.
 
Beene nga akulembeddwamu Ssentebe wa Board Dr. Frank Ssebbowa, asoose kulambula bizimbe abayizi mwebasomera amasomo ga engineering, technical drawing, ne Library. Oluvannyuma Ssaabasajja asisinkanye olukiiko olufuzi olw’okuntikko olutakkiriziddwamu b’amawulire neboogera ku nsonga ez’enjawulo ezitwala Ssettendekero wa Muteesa mu maaso.
 
Omutanda bwavudde awo akyaddeko ku ddwaliro lya St. Joseph’s Kitovu erijjanjaba abalwadde ba Fistula. Wano Ssaabasajja alambudde laboratory ez’enjawulo omuli ebyuma ebikozesebwa mu kulongoosa abalwadde ba Fistula. Bwavudde awo Maaso Moogi alambudde ku bakyala ba Fistula mu ward gyebaatuuma Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Fistula Ward. Wano abakyala bawadde obujulizi nga bamwebaza olw’okubajjanjaba nga asinziira mu misinde gy’amazaalibwa ge egy’emyaka esatu (3yrs) egiddiringana egiyise. Ssaabasajja oluvannyuma asisinkanye olukiiko olufuzi wamu n’abasawo ab’enjawulo abatwala eddwaliro nebamuyitiramu ku ngeri gye bajjanjabamu abalwadde ba Fistula. Ssaabasajja asinzidde wano naweereza obubaka obusiima omugenzi Sr. Sr. Maura Lynch eyafaayo ennyo okulaba nga abalwadde ba Fistula bafiibwako nga bafuna obujjanjabi ku bwerere.
 
Mu bubaka bwatisse omumyuka wa Katikkiro asooka era Minisita w’eby’emirimu n’obuyiya, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, Ssaabasajja asiimye eddwaliro ly’e Kitovu olwa kaweefube gwebaliko ow’okulwanyisa n’okujjanjaba obulwadde bwa Fistula.
 
Omukolo gwetabiddwako Ssaabasumba we Ssaza lye Masaka, John Baptist Kaggwa, Ssaabalabirizi wa West Buganda Bishop Henry Katumba Tamale, bannaddiini, ne bannabyabufuzi bangi.
Leave a Reply