Ssaabasajja asaasidde ab’enju y’Omugenzi Oweek. Joseph Nsambu

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde ab’enju y’Omugenzi Oweek Joseph Nsambu Musisi olw’okuviibwako omuntu waabwe.
Obubaka bwa Kabaka busomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kusabira omwoyo gw’omugenzi ku kelezia ya Our Lady Of Mount Carmel e Kansanga.
Okusaba kukulembeddwamu Bwanamukulu w’ekifo Rev. Fr. Blaise Zimbe. Obwakabaka bukiikiriddwa Katikkiro era yatuusizza obubaka bwa Kabaka.
Okusaba kwetabiddwamu; Nnabagereka Sylvia Nagginda, Katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, Oweek. Ambassador Emmanuel Ssendaula, Oweek Joseph Kawuki, Oweek Martin Sseremba Kasekende, Oweek Charles Bwenvu, n’abakugu abalala bangi. Omugenzi Oweek Nsambu yaliko omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Bungereza ne Northern Ireland.
Leave a Reply